Jump to content

User:Ssemanda willy/sandbox

From Wikipedia, the free encyclopedia

ENGERI Y'OKWEYAMBISAAMU TEKINOLOGIYA WA WATSAPP OKUYAMBA ABAYIZI OKUTEGEERA AMATEEKA AGAFUGA ENKOZESA YA NAKASIGIRWA MU LUGANDA OKUYITA MU KAKODYO KY'OKUZINGULULA KINNAMITENDERA(SCAFFHOLDING)

                                                                        BYA
                                                                       SSEMANDA WILLY


                                                                       15/U/12833/PS

ENNYANJULA -Okunnyonnyola okutegeera kye Ki era na butya abawandiisi ab'enjawulo bwe bakinnyonnyola. NAKASIGIRWA Nakasigirwa kimiimo ekitegeeza akagambo oba akayingo akayimirirawo ku lwerinnya mu mboozi.

-Ebika bya nakasigirwa

-Nakasigirwa ezoobuntu OKUSOMOOZA : ABAYIZI BASANGA OBUZIBU MU KUTEGEERA ENKOZESA YA NAKSIGIRWA EZOOBUNTU MU LUGANDA . Ensonga eziraga okusoomooza kuno. EBIGENDERERWA okunnyonnyola ku kimiimo 'ebigendererwa era na byogerwako bitya abawandiisi ab'enjawulo? Emigaso gyabyo. Ebigenderwa byange mu bujjuvu. OMULIMU. AKAKODYO K'OKUZINGULULA (SCAFFHOLDING) Ebigambo ebifunze...Nks-Nnakasigirwa

                   nll-N'ebirala

ENNYANJULA MU BUJJUVU .Okutegeera

Bino Bloom bye yeesigamako mu kutegeeza omuyizi mu kusoma mu kibiina.nabuli kimu ekigwa mu buli mutendera.

The Knowledge Dimension Remember Under-stand Apply Analyze Evaluate Create

Facts list para-phrase classify Outline Rank categorize

Concepts recall Explains show Contrast criticize modify

Processes outline Estimate produce Diagram Defend design

Procedures reproduce give an example relate Identify critique plan

Principles state Converts solve different-iates conclude revise

Meta-cognitive proper use Interpret discover Infer predict actualize

              NNAKASIGIRWA (PRONOUN)

Ekigambo kino Nnakasigirwa kiva mu kikolwa (O)ku.sigir.a, ekitegeeza okuddira ekintu mu bigere. Kya mazima nti mu njogera zaffe bulijjo oli bwakola ekyatulo kyonna, nga tataddeemu linnya lya muntu, wabaawo ekintu ekikiikirira ekyo oba oyo ayogerwako mu mboozi. Era olwobugundiivu bwaffe mu lulimi tusobola bulungi okutuuka ku makulu ago. Okugeza. - Agenze - Mukikubye? - Baamubbye - Kinnumye! Omuntu yenna omumanyirivu mu Luganda teyeetaaga kutegeezabwa nti waliwo abantu aboogerwako mu mboozi ezo.

Ebika bya nakasigirwa

(i). Nnakasigirwa ezoobuntu (ii). Nnakasigirwa ezebintu (iii). Nnakasigirwa endazi (iv). Nnakasigirwa ezibuuza (v). Nnakasigirwa ezobwannannyini (vi). Nnakasigirwa eziggumiza (vii). Nnakasigirwa entabaluganda (viii). Nnakasigirwa entabaluganda enkozi.

(i). NNAKASIGIRWA EZOOBUNTU

NKs. Ezobuntu bubeera buyingo oba akanukuta akayimirirawo mu kifo kyerinnya eryomuntu eribeera lyogerwako mu mboozi. Nnakasigirwa zino zaawulwamu emirundi ena.

(a). Nks. ez'obuntu ezeemala.

Zino ziyitibwa ezeemala kubanga mu kuziwandiika zisobola okwetengerera ne ziwa amakulu ere ziwandiikibwa nga zeetengeredde. AMATEEKA AGAZIFUGA 1.Tezigattibwa ku kigambo mu mboozi, zeetengerera zokka.

Weetegereze; nnakasigirwa zonna tugenda kuzeekenneenya nga tuzeesigamya ku bantu basatu (3). Omuntu asooka (1ka), Omuntu Owookubiri (2ri) n'omuntu Owookusatu (3tu). Mu njogera zaffe bulijjo tubeera n'abantu abo mu bumu ne mu bungi. Buli lwe twogera wabaawo abantu oba omuntu gwe tubeera twogera naye nga tutunuuliganye; oyo y'aba omuntu owookubiri kubanga ggwe kamwa koogera ggwe osooka. Ate oyo aba taliiwo oba alengerwako obulengerwa ngali wala (nga teyeetabye nammwe awo) ye muntu ayogerwako ng'owookusatu. Ka zeetegererezebwe mu keeso kano: Nks. Ezoobuntu ezeemala Omuntu Bumu Bungi

1ka Nze Ffe

2ri Ggwe Mmwe

3tu Ye Bo


Ebyokulabirako: Nze mmugambye ajje Omwana oyo nze mmuyise Nnakigudde ffe twamuyigiriza okuyimba obulungi. Ggwe wakubye omwana oyo? Mmwe mwagambye Nnakagolo agendeyo? Maama ye yafumbye. Bo baatuwadde emmere taata n'agireeta.

(b). Nnakasigirwa ezoobuntu eziteemala zino ziyitibwa zityo olw'ensonga nti tezisobola kuwa makulu nga zeetengeredde bwe zityo mu kuwandiikibwa zibembekebwa ku bigambo ebirala (ebikolwa). Mu zino ate namwo mulimu Nks. za mirundi ebiri era ze zino wammanga;

(i).	NKs. Ezoobuntu eziteemala enkozi 

Ensonga eziyisa enkozi eri nti - z'ezikola ekikolwa ekiba kyogerwako mu mboozi. Ka nazo tuzirabire ku mweso guno.

NKs. Ez’obuntu eziteemala enkozi. Omuntu Bumu Bungi

1ka n-, (m-, ŋ-) tu-

2ri o- mu-

3ri a- ba-


Nks. ezo ziwandiikibwa n’akasaze ku ddyo waazo lwa nsonga; tezeetengerera - zirina ekiba kizibulako awo awali akasaze ziryoke zikongojje amakulu. Ebyokulabirako: Nsoma nnyo ebiro bino Tusoma nnyo ebiro bino. Otambula nnyo naawe! Mutambula nnyo nammwe! Alya ki? Balya ki?

(ii). Nks. Ezoobuntu eziteemala ezikolebwako Ziyitibwa zityo lwa nsonga nti ekikolwa ekibeera kyogerwako mu mboozi kiba kikolebwa ku bantu (omuntu) oyo akiikiriddwa na Nks. eyo.

Nks. Ezoobuntu eziteemala ezikolebwako Omuntu Bumu Bungi

1ka -n- -tu-

2ri -ku- -ba-

3tu -mu- -ba-


Zino ziteekeddwako obusaze ku njuyi zaazo zombi kubanga buli awali akasaze waliwo ekiteekwa okuteekebwawo Nks. ezo zisobole okuwa amakulu.

Ebyokulabirako


1. Mukiibi anvumye


2. Mukiibi amuvumye


3. Ssekamatte akuvumye


4. Kalule atuvumye


5. Nnakigudde abavumye


6. Kayiira abavumye


NKs. Ezikolebwako nazo zaawulwamu ebiti bibiri;

- Kaabulindiridde (direct object)

-Binsangawano (indirect object)

- Kb/d zikolebwako butereevu

- Bsgwn zikolebwako oluvannyuma

Okugeza;- Namukasa awadde Ssemmanda ensimbi  a-zi-mu-wadde 



(c). Nnakasigirwa ez'ebintu Ng'oggyeeko Ezobuntu nebintu ebirala abitagwa mu luse lwa bantu birina nks.ezibikiikirira. okgz. ekitabo - ki- - ekibbo - ki- - Empale - e- - Akaso - ka- - ettooke - li- - omuti - gu- Okusobola okuzuula Nks. ezo, funa ekintu kyonna okikozese, ekikolwa, akayingo ako akanaakulembera ekikolwa ye Nks. yekintu ekyo.

AMATEEKA AGAFUGA NNAKASIGIRWA EZ'EBINTU Nnakasigirwa zino zonna ez'ebintu zissibwa mu muntu wa kusatu. Tezeemala kuyimirirawo zokka, n'olwekyo zigattibwa ku kikolwa

(d). Nnakasigirwa endazi( demonstrative pronouns) Nks. zino zibeera ziraga ekintu ekyogerwako we kibeera kiri. Nks. zino zaawulwamu ebiti bisatu okusinziira ku kintu ekiba kyogerako we kibeera.

(i). Nnaksigirwa eraga ekintu ekiri okumpi nayogera nga kiri wala noyo awuliriza. NKs. eyo eragibwa nakawakkatirwa -no. Okugeza. Kino kifo kyange Bano abaana nze mbalabirira Guno omuggo gwange nno!

(ii). Nnakasigirwa eraga ekintu ekiri ewala nayogera wabula ngate kiri kumpi nawuliriza. Eragibwa nakawakatirwa -o” Okugeza; Ekyo ekikopo kyange Oyo mutabani wange Ebyo bye bitabo yange

(iii). Nakasigirwa eraga ekintu eikiri ewala w'ayogera n'awuliriza. Eno eragibwa n'akawakatirwa kano li.Okugeza: Kiri ky'olengera kikajjo Kali akaana kake Omuti guli gugenda kugwa.

(e). Nnakasigirwa ezibuuza wabaawo ekintu ekiba kibuuzibwa mu mboozi; kisobola okuba ekiseera, ekifo, ekintu nll. Okugeza: Wa?, ddi?, ki, mmeka, -ni?, -tya?, -aki? Ebyokulabirako; Ani akubye omwani? Oli otya? Mulaga wa? Bulijjo Nks. ezo ziwandiikibwa nga zeetenegedde okuggyako -ni, ne -tya?

Genderera Waliwo emboozi ezoogerwa nga zo zirimu okubuuza kyokka ngate Nks. ezo ezibuuza teziriimu. Okugeza: Tetuulye mmere? Munaatambuza bigere enkya? Omwana eyagenze ku ssomero tannadda? Ekyenjawulo ku mboozi zino, zo ziba zetaaga ebyokuddamu 2, ye oba nedda. Ebibuuzo bino tubitegeerera ku nnewunzika ya ddoboozi.

Waliwo era ebibuuzo ebyataaga okulondako ekimu ku ebyo ebikuweereddwa ne kyoba oyanukuza ekibuuza. Onoolya ttooke oba jjuuni? Onoogenda ku Lwawalumbe oba ku lwa Mukasa?

(f). Nakasigirwa ezobwannannyini NKs. zino zitulaga obwananyini ku kintu ekyogerwako mu mboozi. Omuntu Bumu Bungi

1ka -ange -affe

2ri -o -ammwe

3tu -e -abwe


Okugeza: Essawaani eyo yange Essowaani , ezo zaffe Essowani eyo yiyo Esowaani eyo yiye Essowaani eyo yammwe Essowaani eyo yaabwe. Kyokka ate waliwo nks. ezeefaanannyirizaako nks. entabaluganda ne nakasiba mu mpandiika, naye nks, ezo za njawulo mu njatula yaazo mu mbozi. Oluusi zonna zeeyolekera mu mboozi emu naye ngebifo bya zo bya njawulo. Okugeza: endala 1. Ekitabo kye kiweddeko gwe, lye,ke, bye, twe, ze, ge, be, gye, 2. Olugali lwe lwabuzze kye, etc Akabbo ke kaakali

()Nnakasigirwa eziggumiza / ezessira Nks. zino ziba zongera amakulu ku linnya eriba lyogerwako oba nga ziggmiza oba okussa essira ku ekyo ekiba kyogerwako mu mboozi. -nna -mbi (mbiriri) -mu -kka -nsatule Obuganda obwo bugattibwako nks. (awo awali akasaze) ezikkiriziganya nakagambo ako, mu ngeri ngeno; Omwana ye nna munaaze Omuwala oyo ye-kka gwe njagala Abalenzi bo-kka tebamala Embuzi zo-mbi ziraze wa/ Abasajja aba-mu tebazze. Kungulu oku-mu si kuyonjo. cf Nze nkugambye Mmwe mulibaliita Ggwe olitukiikirira.

Nnakasigirwa Entabaluganda.

(h)Nnakasigirwa entabaluganda ezikolebwako. NKs. zino ziba zireetawo enkolagana oba nga zitaba emboozi ezisukka mu emu.

Bumu Bungi Bumu Bungi Gwe be Lwe ze Gwe gye ke bwe Lye ge gwe gye Kye bye Lye ze

Ebyokukola omwana gwe watumye akomyewo Abaana be watumye bakomyewo Oluso lwe lumenyese Enso ze zimenyese Essowaani gye waguze ebuze Essowaani ze waguze zibuze.

(i). Nks. entabaluganda enkozi Zino okufaanaganako nentabaluganda ezikolebwako, nazo mu kuziwandiika ziyungibwa ku bigambo ebirala era nga ze zino; o-, e-, ne a- (Lung. who, which, and that). Mu kuzikozesa zo ziyungibwa ku nk.l oba ku kikolwa. nks. zino ziyitibwa nkozi kubanga ziyimirirawo ku lwekintu oba omuntu omukozi. Okugeza: (i). Omulenzi eyabbye bamukute (ii). Maama omulwadde bamuwadde ekitanda (iii). Wamusota abadde awo mmukubye nafa.

  • Nnakasiba (Copula). **

Buno buba luggumiza elinnya kye liba likola. Bufaanaganamu nentabaluganda. Naye mu njogera bwawufu. Bulaga nti tewali mulala akola ekyo ekyogerwako. Omukazi yayambala ggomesi. Ekibbo kye kinyiga emmere Ekkalaamu y'ewandiika

Emiti gye1 gye2 yatemye gye3 bafumbisisa 1. NKs. ey'obyannanyini NKs. entabaluganda Nnakasiba


AKAKODYO K'OKUZINGULULA (SCAFFHOLDING)

Okusomesa nakwo kwetaagisaamu okukozesa obukodyo okusobola okuleetera omuyizi okutegeera ekimusomesebwa. Obumu ku bukodyo bw’okusomesa buno ke kakodyo ak’okuzingulula(scaffolding). Ensonjola y’akakodyo kano Okusinziira ku edglossary.org (2015), Mu kusomesa, akakodyo k’okuzingulula kategeeza engeri ez’enjawulo omusomesa z’akozesa okusomesa omuyizi ng’aviira ddala ku kitandikirwako era ekyangu n’agenda ng’azimba ky’asomesa okutuukira ddala ku kisinga obukalubo omuyizi n’asobola okutegeera obulungi. Abasomesa bayisa abayizi mu mitendera egy’enjawulo egibayamba okuba nga basobola okutuuka ku kutegeera n’okufuna obukugu bw’okumulungula ebintu ebikalubo ku lwabwe bokka nga tebayambiddwako. Nga bwe kiba mu kuzungulula okwa bulijjo, engeri zino empanirizi ezikozesebwa mu kakodyo k’okusomesa kano ziggyibwamu singa kiba nti tezikyalina mugaso. Omuyizi buli lw’agenda ng’ayiga by’alina okukola, omusomesa akyusa obuvunaanyizibwa obwandibadde obubwe n’abuzza ku muyizi nga ye. Olwo omuyizi abeera asobola okutwala obuvunaanyizibwa buno mu kuyiga kubanga omusomesa abeera akizudde nti w’atuuse asobola okuyiga ku lulwe yekka. Akakodyo k’okuzingulula kano ka nkizo nnyo mu kusomesa kwonna okutuukiridde era ng’abasomesa bangi bakakozesa nga basomesa. Akakodyo kano katwalibwa okuba nga kaziba emiwaatwa egibeera mu kuyiga kw’abayizi okugeza: kassaawo olutindo wakati w’ekyo abayizi kye bayize wamu n’ekyo kye basuubirwa okuba nga bamanyi ne kye basobola okukola. Okugeza: Singa omusomesa abadde asomesa abayizi okuyiga okusoma bwino, wabula ng’abayizi abo tebannatuuka ku mutendera gwa kutegeera makulu agali mu ekyo kye basomye, omusomesa asobola okukozesa engeri ez’enjawulo ez’akakodyo k’okuzingulula n’asomesa abayizi okutuuka ku mutendera nga basobola okutegeera bye basomye ku lwabwe bokka. Omugaso gw’akakodyo kano omukulu kwe kukendeeza ku ndowooza enkyamu abayizi ze basobola okufuna oluvannyuma lw’okulemererwa okukola ku mirimu egibakaluubiridde kyokka nga tebayambiddwako. Kino kiba kyandibaleetera okuwulira ng’abatalina kye basobola kukola. Edudemic (2014) Akakodyo k’okuzingulula kayita mu mitendera gino; Omusomesa asooka n’alaga abayizi bonna ekintu nga bwe kikolebwa


Ekibiina kyonna kiddamu ne kikigezaako nga bwe kiragiddwa. Abayizi baawulwamu mu bibinja ne bakigezaako


Omuyizi ng’ali yekka addamu n’akikola ku lulwe. Engeri y’okukozesaamu akakodyo k’okuzingulula Omutendera ogusooka: engera y’obudde n’engeri y’okukwatamu eky’okusoma: nga bwe kiri eky’omugaso okugaba obuyambi obumala, era bwe kiri ekirungi okugaba obuyambi obwo mu budde obutuufu. Okugera obudde kwa mugaso nnyo eri omusomesa akaozesa akakodyo k’okuzingulula kubanga singa omuyizi twaeebwa buyambi okuyita mu kiseera kyonna mw’akolera ekintu ekikalubo gyali, kimuleetera okwetamwa era ne babivaako. Okwetamwa kuno abayizi kwe bafuna osobola okukuziyiza ng’obawa obuyambi ku mitendera gy’okuyiga egy’enjawulo nga bwe wagitegese okusinziira ku budde obugere.

Okukozesa ekintu abayizi kye basobola okulabirako (ekifaananyi, vidiyo, okwolesa n’ebirala)

Oluvannyuma lw’okumenyaamenyamu by’ogenda okusomesa abayizi, omusomesa addira ebitundutundu ebyo n’abikolamu ebintu ebirabika nga; ebifaananyi (ebipande) okuli ebintu mu bufunze, vidiyo ssaako n’okwolesa okusobozesa abayizi okwenyigira mu kuyiga mu kifo ky’omusomesa okumaamira okuyiga kwonna. Wabula singa kibeera ng’okukozesa ebipande oba ebintu ebirala ebirabwako kubeera nga tekugya mu kisomesebwa, okunnyonnyola mu bigambo kusobola okukozesebwa abayizi ne basobola okutegeera ekyo ky’oyogerako.


Okukozesa abayizi bye balabye oba bye bawulidde okusobola okukubaganya ebirowoozo ku kisomesebwa

Oluvannyuma lw’okufuna ebintu abayizi bye balabirako ebikwata ku kisomesebwako, omusomesa abikozesa okuleetera abayizi okukubaganya ebirowoozo oba okubuuza ebibuuzo ku kiba kisomesebwako bonna ng’ekibiina. Omusomesa oluvannyuma ayawulamu ekibiina ebibinja eby’enjawulo abayizi mwe bongera okukubaganyiza ebirowoozo. Kino kiyamba n’abayizi abalina ensonyi okubaako kye boogera mu bibinja byabwe nga tebatya. Okukubaganya ebirowoozo kuno kuyamba abayizi okuwaanyisiganya okumanya kwabwe era n’omusomesa ne kumuyambako okubeera nga ategeera engeri abayizi gye bategeddemu kye basomye.


Oba okubuuza ebibuuzo


Omutendera omusomesa we yeetabizaamu omuyizi ku mutendera ogwa ssekinnoomu

Ku mutendera guno omusomesa asomesa ng’obwanga abutunuulizza omuyizi ssekinnoomu, wabula okuzomooza okuli ku mutendera guno kuli nti buli muyizi alina ky’asobola ne ky’atasobolamu kuyiga. N’olwekyo omusomesa alina okufuba okulaba ng’afaayo ku njawulo zino eziri mu bayizi n’okulaba nga baseetukira wamu.


Okulaga abayizi nti okukola ensobi kya bulijjo

Wano omusomesa alina okulaga abayizi nti okukola ensobi kya bulijjo kino kibasobozese okutunuulira ensobi ze bakoze ng’engeri mwe bayina okuyita okuyiga. Ababyizi buli lwe bakimanya nti si kibi okukola ensobi, baba bajja kukola buli kimu mu kuyiga nga tebatidde era nga n’okumanya kwabwe kuba kujja kweyongerako. Omusomesa yennyini asobola okukola ensobi ng’akigenderedde n’abuuza abayizi butya ekinti ekyo bwe kyandikoleddwa. Mu kukola kino abeera abalaga nti naye asobola okukola ensobi.


OMULIMU.

Underline the appropriate personal pronoun in each of these fifteen sentences.

EBIJULUZIDDWAMU (References) Anderson, L.W., Krathwohl, D.R., Airasian, P.W., Cruikshank, K.A., Mayer, R.E., Pintrich, P.R., Raths, J., Wittrock, M.C. (2001). A Taxonomy for Learning, Teaching, aAssessing: A revision of Bloom's Taxonomy of Educational Objectives. New York: Pearson, Allyn & Bacon. Bloom, B.S. (Ed.). Engelhart, M.D., Furst, E.J., Hill, W.H., Krathwohl, D.R. (1956). Taxonomy of Educational Objdbook I: The Cognitive Domain. New York: David McKay Co Inc. Clark, R., Chopeta, L. (2004). Graphics for Learning : Proven Guidelines for Planning, Designing, and Evaluating Visuals in Training Materials . San Francisco: Jossey-Bass/Pfeiffer 1989. Classroom Cotton, K. questioning. School Improvement Research Series. Northwest Regional Educational Laboratory. http://www.nwrel.org/scpd/sirs/3/cu5.html.

Bloom, B.S (2001). A Taxonomy for Learning, Teaching and Assessing: A Revision of Blooms Taxonomy of Educational Objectives. NewYork: Longman Metz, Cade (2016). Forget Apple vs. the FBI: WhatsApp Just Switched On Encryption for a Billion People Wired (magazine):Retrieved 13th/May/2016.

Modern Trends in Education: 50 Different Approaches To Learning: December 1, 2013

© 2017 Quizlet Inc.